Obwakabaka butenderezza emirimu egyakolebwa eyali Ssaabaminisita wa Kenya Rt. Hon. Raila Amollo Odinga.
Obubaka bw'Obwakabaka busomeddwa Oweek. David FK Mpanga bw'abadde yeetabye mu kusaba okutegekeddwa okujjukira omugenzi ku All Saints Cathedral, Kampala e Nakasero.
Katikkiro Charles Peter Mayiga, mu bubaka bwe, ategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka n’Abantu ba Buganda bajjukira nnyo enkolagana y’omugenzi, ab'Enju ye awamu n’Obwakabaka okuviira ddala ku mulembe gwa Ssekabaka Edward Muteesa II.
“Emirundi mingi nnyo Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yakyaliranga Raila Odinga ekiraga enkolagana, okwagalagana n’ebiruubirilwa bya Africa eby'awamu,” Katikkiro.
Katikkiro atenderezza nnyo obuvumu n'obuweerezaabwe eri eggwanga ne mu kaseera akakazigizigi omwali n’okusibwa emirundi egy’enjawulo byonna byaleka omukululo ku nfuga eya demokulasiya mu ggwanga lya Kenya.
Katikkiro akubagizza ab'Enju y’omugenzi okuli mukyala we Ida Odinga, ab’oluganda ne bannansi b’eggwanga lya Kenya.
Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Rt. Rev Samuel Steven Kazimba Mugalu, akubirizza abakkiriza okulabira ku mugenzi Raila Odinga okubeera abasaale mu kutembeeta emirembe mu ggwanga n'okunyweza obwenkanya mu ssiga eddamuzi.
Okusaba kuno kwetabiddwamu ab'Enju y’Omugenzi Raila Odinga abakulembeddwa muwala we Rosemary Adiambo Odinga, Prof. Anyang Nyong’o gavana w'e Kisumu, ba Minisita okuva mu gavumenti ya wakati, abakulembeze b’ebibiina by’obufuzi nabalala.