Katikkiro Mayiga alambudde omulimi we mmwanyi era omulunzi w'ebisolo Mw. Anthony Mateega mu Ssazza Mawokota nasaba abaami ba Kabaka bonna okunyikira ojusasaanya amawulire g'okulima n'okulunda basobole okugoba obwavu.
Okulambula kuno kubadde mu ggombolola mumyuka Kammengo ku kyalo Mpondwe Kibanga Mw. Mateega gyalambulizza Katikkiro yiika z'emmwanyi eziwerera ddala nsanvu (70) kwossa nebiyumba bye nkoko mwaggya ekigimusa.